​Amelica namawanga ekumi agabula aga Isirayiri mubunnabi

Baibuli elimu obunabi obwenjawulo bungi kubiseera byomumaaso ebyamawanga manji. Naye kumpi ekitundu kyobunabi bwomu Baibuli buli ku gwanga na’bantu ba Isirayiri.

Okutegera Obulunji obunabi buno bwoona ku Isirayiri, otekwa okumanya abantu ba Isirayiri abe’naku ziino bebani atte basangibwawa.

Bantu banji, kino tebakirowozako nyo, oba oli’awo waliyo akasi akatono mu mumakati ge buvanjuba kebayita “Isirayiri” sikyo?

Bantu banji basubila ntiino obunabi bwona obukwata ku Isirayiri, bwogera ku gwanga elyo’mulembe guno eliyitibwa Isirayiri. Naye obunabi bunji ku Isirayiri tebukwatagana nabyafayo ebye gwanga Isirayiri eyomulembe guno.

Amazima go gali nti abantu abawangalila mu Isirayiri eyomulembe guno, kitundu butundu ku Isirayiri. Abayudaya abasinga b’ava mu bika bisatu ebya Isirayiri—Yuda,Benyamini naba Levi (1Ebyomumirembe 11:12-14). Mubiseera byedda, waliwo ebika 12 ebya Isirayiri. Kuryensonga ezimu e’zebyafayo, ekika kimu (Yusufu) kitera okubalibwa nga ebika bibili (Efurayimu ne Manase), ekileta omugate okubela ebika 13. Naye nga ebirala obitadde kumabali, Abayudaya bava mubika bisatu kwebyo byona ebika.

​Kiki ekyatukawo Kubika ebilala ekumi ebya Isirayiri?

Baibuli elimu akawonvu nakagga kubyafaayo ku bantu abe’dda aba Isirayiri. Okumanya wa ebika ekumi ebilala jebili olwaleero, tutekwa okutandikira ku bwiino eyawandikibwa Mu Baibuli.

Mukitabo kyo Olubeleberye, Tusanga olugero ku Abramu, Omwana we Isaaka no mwana wa isaaka Yakobo. Yakobo yalina abana 12, abayitibwa “abaana ba Isirayiri” kubanga Katonda yakyusa elinya lya Yakobo namutu’ma Isirayiri (Olubeleberye 32:28). Nga abana bano ekumi nababiri nabo webazala abana, ebibina nebifuka binene era nebafuka ebika ekumi nebibili ebya Isirayiri.

Mubitabo ebisookerwako ebyomu Baibuli,elinya Isirayiri litegeza ebika byoona ekumi ne bibiri. Naye oluvanyuma aba’ Isirayiri, rweba tula ku taaka lya kanani, ebibiina bibiri byatandika okula. Ekika kya Yudah kya’tula mumaserengeta nekitandika okweyawula kubika ebirala mu mambuka. Olumu ekika kya Yuda kyabalibwanga nga ekitundu kya Isirayiri atte olumu nekibalibwa nga ekyeyawula ku Isirayiri.

Jjukira kabaka Dawudi yafuka kabaka wa Yuda emyaka musanvu nekitundu nga tanabera kababa wa Isirayiri yoona (2 Samwiri 5:5). Baibuli egamba Sulemani mutabani wa Dawudi yali “kabaka wa Isirayiri ne Yuda” (1 Basekabaka 1:35). Manya ntiino Yuda yali etwalibwa nga eyenjawulo ku Isirayiri. Mubiseera bya kabaka Dawudi ne Sulemani, Isirayiri ne Yuda byaali bibinja byanjawulo ebyagatibwa mu neliba egwanga Limu.

Naye oluvanyuma lwa Sulemani okufa, ebika ekumi mumambuka bya londa kabaka wabwe nebikola obwakabaka bwa Isirayiri. Ekika kya Yuda ne ekika ka Benyamini na’abalevi abasinga ne kola obwakabaka bwa Yuda. Osobola okusoma olugero kubiki ebyaliwo mu 1 Sekabaka esula eye 11 nesuula eya 12.

Ekikulu kyabyoona ekyokumanya kiri nti Isirayiri ne Yuda bibade bitundu byanjawulo okuva olwoo. Buno obwakabaka bwombi tebwegatanga.

Abayudaya (abamu kubano abasinga obunji abawangalila mu Isirayiri eyomulembe guno), bazukulu ba lulyo olwo obwakabaka obwa Yuda eyedda. Wolaba obunabi ku Yuda mu Baibuli, buno obunabi bukwata ku bayudaya.

Naye obunabi obusinga obukwata ku Isirayiri tebuli ku Bayudaya, oba Isirayiri eyomulembe guno. Obunabi obusinga ku Isirayiri bukwata ku bika ekumi ebya Isirayiri, abekutula ku Bayudaya emyaka nga 3000.

​Ebika ekumi ebyabula

Wekibanga Isirayiri ne Yuda bitegeza ebibinja bibiri ebya abantu, “Isirayiri” eliludawa olwalelo?

Okudamu ekibuzo kiino, otekwa okutunula mu Baibuli.

Oluvanyuma lwa Obwakabaka bwa Isirayiri Okweyawula ku bayudaya, kabaka wa Isirayiri yatya ntino ebika ekumi byandyegata naba Yudaya singa bagenda e Yerusalemi okujaguza ebijulilo ebyomwaka Mukama byeyali yabalagila okukuza. Nolwekyo kabaka yazimba ebifo ebipya ebyokusinzizamu era natekawo enaku ezenjawulo ezokusinzizamu ez’ebika ekumi okusobola okulemesa okukwatagana kwa ba Isirirayiri ku Bayudaya (1 sekabaka 12;25-33).

Katonda yatuma banabi bangi eri Isirayiri nga bogera ntino mukyuke muude eri Katonda ela mukwate amateka ne naku ezokusinzizamu zeyabawa, naye Isirayiri teyakyuka. Basigala bakyakozesa elinya lya Katonda naye nga bekolela byabwe, ebyobuwangwa byabwe ebyakolebwa abantu nga engeri eyokusinzamu. Nolwekyo Katonda yamala nababonereza oluvanyuma nga bawangulwa atte mubusiibe.

Mumwaka 733 BC, Abasuuli batandika okufuga aba Isirayiri era nebabatwala kunsalosalo zomu mumambuka nemuzomu bugwanjubaezobwakabaka bwo’bwa Asuli. Baibuli egamba “munaku za Peka kabaka wa Isirayiri, Tigilasi Pilesa Kabaka wa bwasuli yajja natwala Ijoni, Aberi BesiMaaka, Janowa,Kedesi, Haza, Giliyadi ne Galilaya, nabetaka lyona elya Nafutali ela nabatwala mubusibe mu Bwasuli” (2 Basekabaka15:29).

Sibanga ddene oluvanyuma, Abasuli bawamba Samariya, ekibuga ekikulu eky Isirayiri era nebagobamu aba Isirayiri abalala: “Mu mwaka ogwo’mwenda ogwa Koseya, kabaka wobwasuli, yatwala samariya era nasitula Isirayiri okujitwala e bwasuli era nabateka mu Haala ku lubalama lwomuga Gozani mu bibuga bya bameedi… Tewali yasigala wabula oyo owekika kya Yuda yeeka” (2 Basekabaka 17:6, 18).

Nolwekya Isirayiri yajibwa kutaka lyabwe era abayudaya booka bebasigala. Oluvanyuma nga ebika ekumi ebya Isirayiri bitwalidwa, bilinga ebyabulawo mubyafayo. Era kati bimanyidwa nga ” ebika ekumi ebyabula”.

Naye Isirayiri teyabula eri obunabi.

Kumpi ekitundu kyobunabi obwomu Baibuli buli ku Isirayiri era nga obunabi obusinga bwa “naku ezoluvanyuma.”

Jukira Obunabi mu Ezekyeri 37:15-28. Obunabi buno bwogera kubiseera ebyomumaso ntiino Isirayiri ne Yuda bijja kudamu okwegatta libere egwanga Limu mubiiro ebyoluvanyuma enyo ne kabaka Dawudi alizukizibwa okubafuga. Kilowozeko! Dawudi tanazukizibwa kati. Obunabi buno tebunatukilizibwa. Isirayili ekyeyawude ku Yuda. Ebika ekumi bikyalina jebili eyo kunsi eno.

​Okuzuula ebika ekumi.

Omanya otya ebika ekumi jebili olwalero? Webiba nga ebika ekumi bya bula, osobola otya okubizula?

Osobola okugezako okubizula nga ononyerez wa jebyagend nga abasuli babatutte okuva ku taka lya Isirayiri. Waliwo obulandila butono nyo okubazula nga okozesa ebafayo, naye ebyafayo ebyaterekebwa bisasanye era oyinza okuwunzika nga byogebelede nga ononyeleza byandikuwunzisa nga webikusude siwatufu.

Osanga, wandikiriza Katonda nakulaga Isirayiri weeli olwaleero. Kyewetaga okukola kyoka kwekumanya mawanga ki oba bibinja bya bantu nabaki abatukiriza era abeyongela okutukira obunabi obwebiiro ebivanyuma ku Isirayiri.

Obunabi obwenkizo ku Isirayiri ne Yuda

Mu kitabo kya Abalevi essula eya 26, tuzula obunabi obwenkizo obwabikula ebissera byomu maaso ebye bika ekumi ne bibili ebya Isirayiri. M’usula eno, Mukama ayogela emikisa ejijja singa ebika 12 bigondela Katonda, era nemitendela jebikolimo singa bagana okugondela Katonda.

Emikisa minji kujjo ejalagulwa mu byaalevi 26 jatukirira mubiseera bya Kabaka Dawudi ne Kabaka Sulemani. Mubiiro ebyo obwakabaka bwo bwasuli ne misiri bwaali buyita mubiseera ebyobunafu, ella mumyaka ejitali jawala, Isirayiri yali nga yensi ekyasinze Obugaga nokubera ekyokulabilako munsi yoona.

Naye nga obwakabaka bwa Sulemani nga bunatera okugwa, yakyuka nava ku Katonda era nazimba amasabo gabakatonda abalala (1 Bassekabaka11:4-10). Abantu be nabo nebamulaba nga ekyokurabirako era nebamugobelela nabo nebatandika okuva ku Katonda.

Nga Katonda weyasubiza mu kitabo kye ekya Ebyabaleevi 26, Mukama nabonereza ebika ekumi ne bibili nga ajawo emikisa jyabwe ejjegwanga.Mubiseera bya Sulemani ebisembayo, abalabe batandika okubagolokokelako nga babazingako (1 Bassekabaka 11:14-25).

Sulemani yaffa 931 BC. Oluvanyuma lwakaseera katono Isirayiri ne Yuda nezeyawulamu, mubintundu bibiri atte amawanga amanafu (1 Bassekabaka 12). Mumyaka mitono, abamisiri nebatabala Yuda era nebatwala bunji kubugaga bwabwe (1 Bassekabaka 14:25-26).

Nga wetwalabye, abaasuli batandika okufuga era nga bazayo aba Isirayiri nga wayise emyaka nga bibili, mu 733BC. Ebika ekumi tebyakomawo ku taka lyabwe. Abayudaya booka bebasigala.

Kati awo mu 605BC, Ababulooni bawamba Yerusalemi nebatandika okuzayo Abayudaya mu Babulooni. Abamu kubayudaya bakomawo ku taka lyabwe nga wayise emyaka 70, naye banji kubo tebakomawo. Banji Abayudaya nebagenda mumambuka okuyingila mu semazinga urupu, eyo jebasigala naguno gwaka.

Mu 1916, embela Yabayudaya yakyuka nga tekisubilwa. Nga ensi eri mumakati ga sematalo asooka, Bungereza ne Bufaransa bakola endagano munkukutu jebayita nti “Sykes-Picot aggrement” (elinya lyendagano lili mulungereza). Eno endagano yali elaga engeri gyebanegabanya mu munsi ezili mu Makati ge buvanjuba singa babera bawangude obwakabaka bwa Otomani (Ottoman empire). Mundagano eno, balamba ekifo kya Palesitaini nga ekyenjawulo munsi yoona. Ella mu mwezi gwomukaga nga 1916, Abangereza bayamba abawarabu okwekalakasiza abakulembeze ba Otomani.

Mumwezi gwekumi nogumu, Abangereza bawandika “Balfour Declaration” (mulimi olungereza), nga balangilila obuwagizi eri ” Ebifo byabayudaya” mu palesitaini.oluvanyuma lwekyo, Abangereza balumbilawo Palesitaini era nebawamba Yerusalemi.Biino byona ebyagenda mumaso byaleta okusimbibwa kwe gwanga lya Isirayiri mu 1948, Okuva mukaseera ako, obukadde no bukadde bwa ba Yudaya baze nga bakomawo ku taka lya Isirayiri.

​Isirayiri Yakomawo?

Bantu banji abasoma Obunabi bwomu Baibuli bakiliza mukusimbibwa kwe gwanga lya Isirayiri nokukomawo kwa ba Yudaya to taka lyabwe elyobujaja ntiino kitukuliza obunabi obweda obwogera kukunganya Isirayiri mubiiro ebisembayo. Naye obunabi buli bombi aba Isirayiri ne Yuda. Obunabi buno tebunatukilizibwa! Ebika ekumi naba yudaya bajakunganyizibwa wamu kunkomerelo yebiiro era babere wamu nga egwanga limu, elifugibwa Kabaka Dawudi.

Naye, okukomawo kwaba Yudaya abanji mu palesitaini nokusimbibwa kwa Isirayiri eyomulembe guno, ddala kyatukiriza obunabi mu Ebyabaleevi 26.

Mu Byabaleevi 26, Mukama agamba nti singa ebika ekumi nebibili bikyuka okumuvako, ekisoka baja kufuna Okutya, endwadde nokulemererwa muntalo (Ebyabaleevi 26:16-17). Oluvanyuma ebibonerezo ebirala birijja, ekinavamu byebika okutwalibwa nga bajibwa okuva kutaka lyabwe (Ebyabaleevi 26:32-39).

Katonda yayogela ebyomumaso mugeri nga eyolugero, oba ebibonerezo bino biliberawo okutusa ddi: “Bino byona webitukawo era nemutampuliliza, era nemutambulila mukubo eritali lyange… era nga kubabonereza nga mbakuba emirundi musanvu olwebibi byamwe” (ebyabaleevi 26:27-28).

Katonda yagamba alibonereza ebika ekumi nebibili “emirundi musanvu” mu somo erisoka wayize ntiino “emirundi musanvu” kitegeza obudde obwenaku 2520, oba emyaka 2520. Kino wekiba nga tekikuvilayo bulunji, gerageranya Okubikkulibwa 11:2-3 (emyezi 42 ne nnaku 1260) no Okubikkulibwa 12:14 (emirundi 31/2) no Okubikilibwa 13:5 ( emyezi 42). Era soma Okubala 14:34 ne Ezekyeri 4:6, Ebiraga ntiino olunaku mubunabi luteera kutegeza Omwaka.

Ebyabaleevi 26 kyogera kubiseera ebyomumaso nti Katonda alibonereza Abayudaya era nebika ekumi “ebiseera musanvu” kulwebibi byabwe. Kitegeza ekibonerezo kyakubelawo emyaka 2520.

Manya ntiino abayudaya batandika okujibwa ku taka lyabwe mu 605 BC. Wogata ko emyaka 2520 ku myaka 605, ofuna 1916AD- ebiseera byenyini ekubo lya Abayudaya okuda ewaka welyatandikibwa okugulibwawo nate.

Obunabi obwebiseera omusanvu bwatukukirizibwa mu biro byenyini. Kino kyekimu kubwiino nti obunabi byomu Baibuli butufu.

​Ebika ekumi biriwa leero?

Kati olina ebisumuluzo byewetaga okunonya abantu ba Isirayiri eyomulembe guno: Gatamu ddi ebiseera omusanvu ebyekibonerezo webyakoma ku Isirayiri awo olyoke osome ebyafaayo okumanya mawanga kki agatandika okusituka mubiseera ebyo.

Wakilabye nga ekibonerezo kya Isirayiri kyatandika nga Katonda ajjewo emikisa gya Isirayiri nga ensi “nga Sulemani akadiye” (1Baseekabaka 11:4). Sulemani yaffa mu 931 BC kumyaka 70. Kirabika kunkomelero yobulamu bwa Sulemani, yenenya era nawandika ekitabo eky’Omubulizi. Nolwekyo okuteberezebwa kwa magezi mazale, kyandiraga nga obudde bwe kibonerezo bwandiba nga bwantandika emyaka ettano emabega nga Sulemani tanafa—awawo mubiiro byemyaka jye 936BC. (Waliwo obunabi era obwongera okukasa ku biro ebyo.)

Wogata emyaka 2520 ku myaka 936BC, otuka ku mwaka gwa 1585AD.

Waliwo ekintu kyona ekyenjawulo ekyatukawo mumwaka gwa 1585? Iyee.

Mu 1580, Kabaka Filipo owokubiri owa Supeyini yali agasse Abasupanishi nobwakabaka bwa Potigo wansi wobufuzi bwe. Bunno obwakabaka bwombi nga bwegase, bwagaziwa okubuna ensi yona. Filipo yali ava mu Lulyo olwamanyi olumanyindwa nga “Hapsburg family” (Hapusibaaga famire) eyafuga amawanga manji ku semazinga urupu. Era kyali kiraga nti olulyo lwa Hapusibaaga lwandi fuuga semazinga urupu yeena.

Mu 1585, Kabaka Filipu owokubiri yatandika kawefube owokudamu okufuna obuyinza ku bu Daaki era yeyongeleyo nobuyinza bwe ku Bufaransa ne Bungereza, Naye kawefube ono owa Filipo yamwefulila era mu 1585 yeyali entandikwa yenkomerero ya bufuzi bwolulyo lwa Hapusibaaga mu urupu nensi endala.

Olunaku olwasembayo mumwaka gwa 1584, Filipo yayingira mundagano eyekyama nekibina kyabakatoliki mu Bufaransa. Eno endagano yayawula bulunji nga Obukatoliki webunabera eddini yoka ekilizibwa mu Bufaransa. Mukitundu ekimu yali ekugira omuporotesitanti Henry Navarre okufuka Kabaka. Abangereza webamanya kundagano eno, batya nti eyinza okuba nga yemu kukitundu ekyokugezako okusula Obuporotesitanti mu bitundu byoona mu Urupu.

Naate mumwezi ogw’omunana mu 1585, Filipu yasobola okujamu mu Antwerp (linya lyakitundu) ku bayekera abaporotesitanti abali abebu daaki. Naye obuwanguzi bwe bwaletela supeyini okukirila. Oluvanyuma lwenaku entono, Abasupanishi batwala Antwerp, Bungereza eya purotesitanti nekola endagano okuwagira abayekera be budaki. Kino kyatandikawo olutalo wakati wa Bungereza ne supeyini.

Oluvanyuma lwokugwa kwa Antiwapu ( Antewerp), abadaaki begatamu ebibinga, ela mu bwangu ddala nebasituka okubera abakulembera ensi yoona okubera ne sente enyinji.

Okugezako kwa Filipo, okwenyigira mu byobufuzi bwa Bufaransa nakyo kyagana. Henry Narvarre (linya lya muntu) yafuka kabaka we Bufaransa, era nakiriza okubelawo kwenzikiriza yaba purotesitanti mu Bufaransa era nagatta Bungereza ne Budaaki nga zilwanyisa Supeyini. Eno yeyali entandikwa ya Bufaransa okusituka edde mukifo kya Supeyini nga kirimanyi wensi yoona.

Olutalo lwa Supeyini ne Bungereza nalwo lwagana. Mu 1588 ,Abangereza bawakanya okugezako kwa Abasupanishi Okubafuga era babateke wansi wobufuzi bya ba katolika. Okuva mu 1585 okweyongera yo, Bungereza yatandika okukula mututumu elya manyi era egwanga elyawambanga atte nelifuga. Ella ekibina kyamawanga amagate agaliko wansi we Bungereza (The British common wealth) nekida mukifo kya Bufaransa nga kilimanyi asinga munsi yoona. Oluvanyuma Amelica eyakula nga eva mumawanga agali gafugibwa Bungereza nefuka Kirimanyi wensi yoona.

Manya ntiino mu 1585 yeyali entandikwa yokukyusa nokulwanirwa ekifo kyobwa kirimanyi munsi yoona. Amawanga goona agomumambuka go bugwanjuba ku semazinga urupu, galinga agalina buli mukisa, Mubiseera ebyo, Obwakabaka bwa Denmark ne Norway nga kwotade ne Iceland (Manya ga’nsi) bwafuka bwamanyi obutabusibwa maaso. Obwakaba bwa ba swidii(Sweden) nabwo bwafuka obumu ku kirimanyi ku semazinga Urupu. Emyaka ebiina ejadilila amawanga ago mumambuka go bugwanjuba ku semazinga urupu ne ebintu byona byegafunganga gafuka magaga nyoo mu nsi yoona, era nga ebiseera ebisinga nga gafuga ekisoba mukitundu kyebyenfuna byona munsi.

Ebyaliwo mu mwaka gwa 1585 no kweyongerayo kyaleta ekomo ku kitundu ekisoka mu biseera omusanvu ebyokubonereza Isirayiri.

Kyewunyisa? Tekyandibadde.

Mukama yagamba Abramu ntiino “Ojakubera tata wamawanga manji…era ndikufula egwanga era nebakaba baliva mugwe” (oluberyeberye 17:4, 6). Era Mukama yagamba nti aliteka ebika 12 ” wagulu okusinga amawanga goona agokunsi” (Ekyamateka 28:1).Biino ebisubizo byatukilizibwa.

Lowooza. Waliyo ekibiina kyona ekyegwanga mubyafayo, ekyali kifunye kubugaga obunji nga obwajila amawanga agomumambuka go bugwanjuba ku semazinga urupu namatwale gebali bafuga ku semazinga Amelica,Canada,Australia, New Zealand ne South Africa?

Waliwo ekibina kyona ekya mawanga amalala ekilala ekyali kituseko ku manyi mukaseera kekamu mukama keyalagulako mu biiro byomumaso mu baibuli?

Etutumu lyokukula amangu kwomumambuka ga bugwanjuba wa urupu, namanyi, nobugaga nobuyinza bwebalina munsi yoona emyaaka 400, bwiino atawakanilwa mubyafaayo.

Ebika ekumi ebyabula bililudawa olwalero? Mawanga kii aganatukiriza obunabi bwomu Baibuli obwenkomerero ku Isirayiri? Kebeera bwiino olyoke wesalilewo.

​Bwiino Omulala

Jjukira nti omutemwa ogwokubiri ogwekibonerezo kya mawanga ekumi kyatandika nga abasuuli batandise okuzayo aba Isirayiri okuva kutaka lyabwe mu 733B.C. Guno omutemwa gwekibonerezo gweyongelela ddala era mumaso emyaka 2520 gyenyini mumwaka gwa 1788.

Kiki atte ekyatukawo mu 1788? Omwaka 1788 gwegwatandika okututumuka kwa mawanga agogera Olungereza.

Tunulila bwiino ono:

  • Semazinga ositureliya (Australia) yetongola ddi? Nga 26 omwezi Ogusooka 1788
  • Eggwanga Canada lyetongola ddi? Nga 1791, nga wayise emyaka esatu nga disiturikiti ezaali zitwaala obuyinza nga zogela lungereza zakasimbibwa mu quebec (linya lya kitundu) mu 1788.
  • Bungereza yafuka ddi Kirimanyi wensi zoona? Mu 1788 , nga bufaransa etandise okudilila mu lutalo olumanyidwa nga French revolution (okwekalakasa kwa bufaransa)
  • Amelica yazalwa ddi? Nga semateka wa Amelica akoledwa mu gwomukaaga, nga 21, omwaka 1788.

Bunno bunabi obulala obwewunyisa obwatukirizibwa mu budde bwenyini.

Mu somo elinadako ojja kusoma kubunabi obukwata kuntuko zabantu benaku zino aba Isirayiri.