​Obuvunanyizibwa bwa'Bugirimani kubigenda mumaso mubiseera eby'enkomelelo

Obulumbaganyi obwakolebwa egwanga lya Rasha ku Ukureyini mu 2022 bwewunyisa ensi.

Okutisa kwa Putuni okujayo ebyokulwanisa namuzisa, kyazukusa entisa eya sematalo owo’ku saatu. Munaku mbaale ,chansala we Bugirimani yavayo nasubiza okusasanya obuwumbi 100 obwa uro okuzimba ejje lya Bugirimani. Amawanga agalilanye semazinga wa urupu gatandika okunonya okwegatta mu kibina kya uropiyani uniyoni (EU) nekibina ekya amawanga amagate eya NATO.

Biino ebigenda mumaso, bikomenkelezawa?

Obunabi bwa baibuli bwogera kii kubiro byo mumasso ku Urupu, Rasha nensi yoona?

​Babulooni eyebiseera ebyenkomelelo

Ekitabo ekyo Okubikkulirwa kyogera kukibuga ekyamanyi “Babulooni” ekyo “kifuga obwakabaka byona obwokunsi” kunkomelelo yebiro (Okubikkulirwa 17:5, 18). Ekibuga “Babulooni” kikikirila ebyobufuzi, ebyenfuna namanyi gamadiini agagenda okujja okuwamba ensi nga Yesu anatela okuda (Okubikkulirwa 18).

“Babulooni” owomulembe omupya alibera ludawa?

Kuno okufugibwa kwensi okwebyoufuzi na manyi ga madini bilija dii okulabikibwako ensi?

Ekyokudamu kili mu Danyeri 4

Obunabi obweda bulaga nti Babulooni eli wano kati naffe.

Nga omaliliza esomo lino, bambi twala kubudde wesomeleko Danyeri 4. Kakano katujiyitemu mubumpi. Nabukaduneeza, kabaka we Babulooni, yafuna ekirooto nga omuti omuvanvu ogwali gugaba ekisikirize ne mere eli ebinyonyi byona nensolo mu nsi yoona. Awo omuti negutemebwa ate nekibya kyekyuma nekibikibwa kukikonge kyomuti ekisigadewo “akasela” akemirundi omusanvu:

Wewawo kabaka yalaba omutunuzi nomutukuvu nga’bakka wansi okuva mu ggulu nga bogela ntiino ’ temera ddala omuti ,oguzikirize naye leka ekikonge kyekikolo kyagwo mu taaka nga kiriko ekyuma ekisiba n’ekikomo, mu muddo omugonvu ogw’omu nsiko, era guleke gutoobe no’musulo ogw’omu ggulu. Leka abele nensolo ezomunsiko, okutuusa ebisera omusanvu webinamuyitako. Kuno kwekuvunula kwekiroto, ayi kabaka, kuno kwekulangilila kwo’oyo ali wagulu enyo, okuuze eli gwe mukama wange kabaka “ogenda kugobebwa mumaso gabantu era ogende obere nensolo ezomunsiko. Era oliriisibwa omuddo ng’ente atte ogenda okutoba no’musulo gwo’mu gulu atte nebiseera omusanvu bikuyiteko okutuusa lw’olitegeera nti oyo ali wagulu enyo yafugira mu bwakabaka bwa abantu atte nga abuwa yena gwaba ayagade. Wewawo yalagila ekikonge ky’ekikolo kyomuti kisigale, kale obwakabaka bwo bulikudizibwa. Oluvanyuma olimanya ntino eggulu lyelifuga.” (Danyeri 4:23-26).

Oluvanyuma lyo omwaka obunabi buno bwatukirizibwa. Mukama neletera Nabukaduneeza okugwa eddalu nga ekibonerezo kya malala ge. Awo kunkomelelo yemyaka omusanvu kabaka amagezi ge negamudamu era nakomawo okufuga obwakaba bwa Babulooni.

​Lwaaki bunno obunabi buli mu baibuli?

Manya ntiino Danyeri teyawandika buno obunabi okutusa nga bumaze okutukilizibwa. Buno obunabi tebutubulila kintu kyoona kubisera byomumaso mpozi nga bwalagula okutukirizibwa okwokubiri mubiseera ebija, atte nga kitufu waliwo okutukirizibwa okwobunabi obwokubili.

Nga Babulooni wetalina mufuzi “ebiseera” omusanvu nga Nabukaduneeza agudde eddalu, waliwo ekiseera ekyokubili Babulooni wetalina mufuzi “ebiseera” omusanvu. Atte “akasela” keki?

Mubunabi bwa baibuli, “akaseera” kitegeza obude obwenaku 360. Tumanya tutya? Okubikkulirwa 11:2-3 kyogera kubude obwakaseera akamanyidwa nga “emyezi 42” oba “enaku 1260”. Mu kitabo kyo Okubikkulirwa 12:14 obudde bwebumu obwa’kaseera obuyitidwa “ekiseera” atte “ebiseera atte ekitundu kyebiseera” (1+2+1/2=3 1/2 ebiseera). Wonogatamu obulunji ojja kulaba nga “akaseera” ze’naku 360.

Okutegela obulunji okutukirizibwa kwobunabi obwokubili mukitabo kya Danyeri 4, otekwa okumanya ntino mu bunabi bwa baibuli, “olunaku” lutegeza omwaka. Soma Okubala 14:34 ne Ezekyeri 4:6, okitegele bulunji.

Mukutukiriza obunabi obusoka mu danyeri 4, Babulooni yali telina mufuzi enaku 2520(7*360=2520) emyaka musanvu.

Okutukiriza obunabi obwokubili, babiloni yali telina mufuzi okumala emyaka 2520. Katonda yatematema obwakabaka bwa Babulooni obweda natekako ekikomo kyekuma kukikonge kyomuti okuguziyiza okukula emyaka 2520. Naye nga kunkomelelo” yebiseera omusanvu”, mukama yajako ekikomo kyekyuma. Mukaseera ako, omufuzi omujja yajja mubuyinza ne “Babulooni” eyogerwako mukitabo ky’ Okubikkulirwa nedamu okukula nate. Eno Babulooni ekyakula paka kati ekyakula atte mumaso gaffe atte ekyakulila ddala okutusa lwenafuga ensi yoona.

​Biino byatukawo dii?

Awo nga ekiloto kya kabaka Nabukaduneeza mu danyeri 4 kyakamala oku’gwa, esuula edako ebuukila ddala negenda mumaso mukasera okwogera kukugwa kw’obwakabaka bwa babiloni obukadde (nga obunabi bunji mu baibuli,ekitabo kya danyeri kyawandikibwa bulunji nga kigendela kumitendela okusinga oku’guumiza akaseera ebintu we’byaliwo) awo abafuzi ba babiloni bali kukijulilo, omukono negubalabikibwa neguwandika kukisenge. Kabaka nayita Danyeri okusoma obubaka atte abunyonyole. Danyeri nanyonyola obubaka obwali buwandikidwa kukisenge era bwali bulaga nti obwakabaka bwa Babulooni bwali buwedewo era nga katonda abuwade aba meede nabebuperusi.

Mazima abameede nabaperusi baali bawambye obwakabaka, era baali balumba ekibuga kya Babulooni ekiro ekyo. Tuyinza okumanya lunaku lwenyini olwandikibwa mu katabo kebayita Nabonidus Chronical (linya lya kitabo mulungereza) ekyogera ntiino “olunaku olwekumi nenya sippa yawanbibwa awatali lutalo. Nabonidasi yaduka. Kulunaku olwe kumi nomukaga, ugubaru sentebe wa gutiyamu ne jje lya kuulo, yayingila Babulooni awatali lutalo.”

Sippa yawambibwa olunaku olwekuminenya mu mumwezi ogwekumi mumwaka 539 BC (BC kitegeza emyaka nga yesu tanajja kunsi) ku calenda yabuyudaya oguyitibwa Tishiritumu., Awo nga wayise enaku biri Danyeri yagamba abafuzi ba Babulooni ntiino Babulooni yali egabudwa abameedi na baperusi, era mukiro ekyo, ekibuga babiloni kya’gwa. Kakano okuva mubisera ebikade ebye bipande ebyamayinja, tulina enaku zenyini eze biro nebisela ebilambila dala entandikwa ya omwaka 2520 obude babiloni wetalibela namufuzi.

Ngatetunagata naku zamwezi zenyini ekiseera kino wekyagwelako,manya tulina akakwate akalala kumwaka ogwa 2520,omwaka omukono gwa Mukama wegwawandikila kukisenge, ebigambo byaali “mene,mene, tekel ne ufasini” (Daniel 5:25) kale oba olina Baibuli nga elina okunyonyola wansi , wandilaba nga ebigambo binyonyolwa mubigero bya sente. “Mene” ye mina ekitegeza zisekeri 50. “Tekel” ye sekeri. “ufasin” kitegeza “kwawuzamu” oba “ekitundu” era kitegeza ekitundu kya mina ekitegeza zisekeri 25. Gata bino byona .50+50+1+25=126 zisekeri. Okuva 30:13 kigamba esekeri ezitowa gera 20. Kubyamu zisekeri 126 emirundi 20 ejja gera, ofuna gera 2520. Eno ye namba ye mu jetwafunye okuva mubunabi “obwebiseera omusanvu” mu Danyeri 4.

Kati kyamakulu okumanya ntino ebiiro mubunabi bwa Baibuli bitela kukozesa kalenda ya’Bebulaniya. Omwezi ogwa Tishiritumu mu kalenda ya’baBabulooni gwe gumu nomwezi Tishiri mu kalenda y’Abebulaniya, nolwekyo ekibuga sippa kya’gwa nga 14, omwezi gwa tishiri, omwaka 539 BC ,era oluvanyuma lwenaku biri, Danyeri nagamba nti obwakabaka bwe babiloni bwali bugabudwa abameedi nabaperusi. Kati awo tugenda kutandika okubala nenaku zomwezi eza Tishiri 14,omwaka 539 BC. Wetugata emyaka 2520 tufuna Tishiri 14,1982 AD (AD kitegeza omwaka nga yesu yamala okufa)

(oyinza okwebuza ntiino omwaka 539BC +1982 AD=2521? IYEE! Kubanga toyinza kugamba ntiino tewali mwaka wakati wokwawula omwaka ogwa BC no gwa AD. So’no ekisera mumakati gwomwaka 1BC ne 1AD kitegeza waliwo omwaka so sii emyaka ebiri nga jewandifunye singa oba ogase 1BC+1AD).

Wokebela ku kalenda ya abelaniya ,ojakukizuula ntiino enaku zomwezi 14, omwezi Tishiri,omwaka 1982, zatuka nga lumu, ogwekumi. Kati nonyereza amawulile oba kumutimbagano kiki ekyaliwo nga lumu,omwezi gwekumi, omwaka 1982.

Kiki kyozuula? Enkintu ekyekusa ku chansala we bu Girimani? IYEE KITUFU. Chansala we bugwanjuba we bu’Girimani yakyusibwa ne Hemut Khol ngatekyusubirwa atte nga simukalulu akabantu boona wabula akabakungu abalondemu nga bagamba ntiino bamujemu obwesigwa. Mubyafayo bya Bugirimani, guno gwe mulundi gwooka , omukulembeze okuja mubuyinza mungeri etali yabulijjo.

​Ddala Bugirimani elikulembela ensi?

Ekyomukulembeze Helmut Kohl okujja mubuyinza ngatekisubirwa mu mwezi gwe gwekumi ,nga olumu, omwaka gwa 1982, kyali kyakutukiriza obunabi obwokubili mukitabo kya Danyeri 4? Lowoza ku mazima gano wansi ,olyoke wesalilewo:

  • Mu myaka munana gyoka oluvanyuma lwobukulembeze bya helmut khol, ebuvanjuba ne bugwanjuba wa bugirimani badamu nebegatta kulunaku lwenyini kohl lweyajja mubuyinza, Tishiri 14, ogwali omwezi ogwe kumi, nga enaku zomwezi 3, mu mwaka gwa 1990.
  • Kohl yali nga yasinga okubiliza okwegatta kwa buvanjuba ne bugwanjuba wa semazinga urupu, era yali omu kubantu ababiri abawandika endagano ya “Maastricht treaty” Endagano eno yeyaleta okwegata kwa amawanga ku semazinga urupu era nokukozesa ensimbi ezimanyindwa nga uro mumawanga gano ela negulawo oluji eri ensi eziri mu mubuvanjuba bya urupu okwegata kukibina ekimanyindwa nga “European Union”( ekibina ekigata amawanga ku semazinga urupu).
  • Kohl nabamudilila mubigere, basimbye Bugirimani nga ensi Kilimanyi mu urupu atte nga bakola butawera okulaba nga basimba semazinga urupu nga kilimanyi we ensi zoona. laba Olaf Scholtz: Germany Should Lead the World(Akatabo ako akawandikibwa Olaf Scholtz nga agamba ntino Bugirimani ettekwa okukulembera Ensi)

Mikisa ki egiliwo ejilaga ntino emitendela kyebintu biino bijja kutandika ku lunaku lwenyini olwalagulwa emyaka 2500 mu maaso?

Jukira obunabi mukitabo kya Danyeri 4 obwogela ku kibya kyekuma ekiteredwa ku kikonge kyomuti ogwatemebwa. Kasita gwajibwako ekibya kyekuma nga lumu, mugwekumi mu 1982, kilimanyi empya, Babulooni empya yameruka okuva kumirandila jya Babulooni eyeda.

Obunabi bwomu baibuli bwalagulwanga ku lwa Katonda atte Katonda wayogela nti ekintu kigenda kutukulila, ye yenyini yakitukiriza mubudde bwenyini

​Ani alikulembera ku kyasa kino (omulembe guno)?

Bugirimani nga’ekulembede semazinga urupu ne ebitongole ebyamadini ebyamanyi bija kutukiliza obunabi byomu Baibuli ku Babulooni eyonkomelelo.

Obunabi byomu Baibuli bulaga nti “Babulooni” eli maliliza nefuga obwakabaka bwensi yona era na mawanga nga rusha,kyaina namalala gona munsi. Mumisomo ejinadako, ojakuyiga binji ebikwata ku kubwakaka obujja na bakulembeze bensi yoona ekumi abagenda okukola emirimo ejjamanyi okutukiriza ebintu ebigenda okukolebwa mubisera ebyenkomerero. Kakati tunulila engeri babiloni ngekula.eyabugirimani nga ekulembede semazinga urupu nga yegata nebibinja byamadini weyanukula okutisa kwa rusha.

Esomo elidako, lijja kuwa ebisumuluzo ebigulawo ekitundu kyo bunabi mu baibuli.

Tewerabila okusoma danyeri 4, wekakase ntino eyogera ku byosomye.